Job 34

1Awo Eriku ne yeeyongera okwogera nti,

2“Muwulire ebigambo byange, mmwe abasajja ab’amagezi;
mumpulirize mmwe abayivu.
3 aKubanga okutu kugezesa ebigambo
ng’olulimi bwe lugezesa emmere.
4 bLeka twesalirewo ekituufu;
muleke tulondewo ekisaanidde.

5 c“Yobu agamba nti, ‘Siriiko musango,
naye Katonda agaanye okusala omusango gwange mu mazima.
6 dWadde nga ndi mutuufu,
ntwalibwa okuba omulimba,
wadde nga siriiko musango,
akasaale ke kanteseeko ekiwundu ekitawonyezeka.’
7 eMusajja ki ali nga Yobu,
anywa okunyoomebwa ng’anywa amazzi?
8 fAtambula n’abakozi b’ebibi,
mukwano gw’abo abakola ebitali bya butuukirivu.
9 gKubanga agambye nti, ‘Omuntu talina kyaganyulwa
bw’agezaako okusanyusa Katonda.’
10 hNoolwekyo mumpulirize mmwe abasajja abalina okutegeera.
Kikafuuwe Katonda okukola ebibi,
wadde Ayinzabyonna okukola ebikyamu.
11 iAsasula omuntu olw’ekyo ky’aba akoze;
n’amutuusaako ebyo ebimusaanidde olw’empisa ze.
12 jWeewaawo amazima gali nti, Katonda tasobya.
Ayinzabyonna tasaliriza musango.
13 kObuyinza yabuggya eri ani okukulembera ensi?
Ani eyamuwa olukusa okufuga ensi yonna?
14 lSinga asalawo n’atwala omwoyo gw’omuntu
awamu n’omukka gwe,
15 mabantu bonna bandizikiriridde wamu,
era omuntu yandizzeeyo mu nfuufu.

16“Bw’oba olina okutegeera, wuliriza kino;
wuliriza kye ŋŋamba.
17 nOyo atayagala bwenkanya asobola okufuga?
Onoosalira abatuukirivu n’oyo ow’amaanyi omusango?
18 oOyo si ye agamba bakabaka nti, ‘Tolina mugaso,’
n’abakungu nti, ‘Oli mukozi wa bibi,’
19 patattira balangira ku liiso
era nga tafa ku bagagga kusinga bw’afa ku baavu,
kubanga egyo gye mirimu gy’emikono gye?
20 qMu kaseera buseera baba bafiiridde wakati mu ttumbi.
Abantu banyeenyezebwa ne baggyibwawo.
Abo ab’amaanyi batwalibwa n’omukono ogutali gw’abantu.

21 r“Amaaso ge gatunuulira amakubo g’abantu;
atunuulira buli kigere kye batambula.
22 sTeri kifo kikwafu wadde ekisiikirize eky’amaanyi,
ababi gye bayinza okwekweka.
23 tKatonda teyeetaaga kwongera kwekebejja bantu
okulabika mu maaso ge okusalirwa omusango.
24 uAwatali kwebuuza ku muntu yenna, amenyaamenya ab’amaanyi
n’ateekawo abalala mu kifo kyabwe.
25Olw’okubanga amanyi ebikolwa byabwe,
abamalamu amaanyi ekiro ne babetentebwa.
26Ababonereza olw’ebikolwa byabwe ebibi
abantu bonna nga balaba,
27 vkubanga baamuvaako ne balekeraawo okumugoberera
ne bataddayo kufaayo n’akatono ku makubo ge gonna.
28 wBaleetera abaavu okukaaba, ne kumutuukako
era n’awulira okukaaba kw’abanyigirizibwa.
29Naye bw’asalawo obutabaako ky’ayogera, ani ayinza okumunenya?
Bwakweka amaaso ge ani ayinza okumulaba?
Eggwanga n’omuntu abalinako obuyinza bwe bumu;
30 xaziyiza omuntu atatya Katonda okufuga,
aleme okutega abantu emitego.

31“Singa omuntu agamba Katonda nti,
gunsinze, sikyaddayo kwonoona,
32 ykye sitegeera kinjigirize,
bwe mba nga nsobezza sikyaddayo kukikola,
33 zolwo Katonda akuddemu nga bw’oyagala,
akuleke ng’ogaanye okwenenya?
Kaakano ggwe olina okusalawo, so sinze;
noolwekyo mbuulira ggwe ky’omanyi.

34“Abantu abalina okutegeera mumbuulire,
abasajja abagezi abawulira muntegeeze,
35 aa‘Yobu ayogeza butamanya
ebigambo bye tebiriimu kwolesebwa.’
36 abSinga Yobu agezesebbwa okutuusa ku nkomerero,
olw’okwogera ng’abasajja abakozi b’ebibi!
37 acKubanga ku kibi kye ayongeddeko obujeemu,
n’akuba mu ngalo wakati mu ffe,
n’ayongera okwogera ng’awakanya Katonda.”
Copyright information for LugEEEE